Omusumba yewadde obutwa n'abaaba be babiri Bafudde lwa mukazi we kunoba

Поділитися
Вставка
  • Опубліковано 6 лют 2025
  • Abatuuze ku kyalo Ng'andu baasuze ku ntujjo olwa mutuuze munnaabwe agambibwa okuba omusumba eyeewadde obutwa n'abaana be babiri nga wetwogerera ze mbuyaga ezikaza engoya.
    Kigambibwa nti, James Nakabi kati omugenzi okwejja mu budde kyavudde ku mukyalawe amanyiddwa nga Viola Tumusiime okumyumyuula engugu nanoba ekyatabangudde Nakabi.
    Tumusiime y'abadde azaaala abaana Daniella Sabano (3) ne Agnes Naheyira (1.5) nga bano bafudde ne kitaabwe bwebaabadde baddusibwa mu ddwaliro lya gavumenti e Mukono.
    Baliraanwa bagamba nti, ababiri bano olunaku lw'eggulo baasiibye bakola mirimu gy'awaka wakati mu ssanyu nga nekyabatabudde nakati tekinnategeerekeeka.
    Bano bagasseeko nti ku ssawa z’olweggulo, omukyala yalabiddwa nga agenda n'engugu ye era wezaaweredde ssawa nga ssantu ez'ekiro kwabadde kuwulira Miranda nankwaziirana.
    Baliraanwa batubuulidde nga bwegwabadde nti, baagezezaako okutaasa obulamu bw'abantu bano nga babaddusa ku ddwaliro ekkulu e Mukono naye tekyasobose.
    Hakim Ibrahim Mpanguzi muganda w’omugenzi atubuulidde nti abafumbo bano baafunako obutakkaanya Nakabi bweyatunda ekibanjankye mu kyalo omukyala nagenda ne ssente zonna nga okuva olwo abadde anoba ng'omusajja bwamukomyawo.
    Ye Kimbugwe Bakali ow'abavubuka ku kyalo Ng'andu agamba nti gyebuvuddeko yayingirako mu nsonga y'abantu bano omwami bweyalumiriza omukyala okukozesa omukisa nga bba Ali kumulimubgwa chapati gwabadde akola naleeta omusajja omulala mu nyumba era nga bazimalira ku poliisi.
    Kimbugwe alabudde ku ky'abasajja abakuliridde okwagalanabawala abato ate nebalemererwa okubasanyusa.

КОМЕНТАРІ • 1

  • @popinemedia
    @popinemedia 15 днів тому

    Kibo nyo banange omusumba okwegya mu bulamu