Aba NUP bwe babakuba olw’okwambala T. shirt za NRM nammwe mubakube-Munnamateeka Ntwatwa y’aduumidde!

Поділитися
Вставка
  • Опубліковано 24 тра 2024
  • Waliwo munnakibiina kya NRM, munnamateeka Jackson Ntwatwa akawangamudde bw’ategeezezza nga bw’aludde ng’afuna okwemulugunya okuva mu bannakibiina nga bwe batya kati okwambala emijoozi gy’ekibiina kyabwe egya kyenvu ng’entabwe eva ku bannakibiina kya NUP abaagala okubakolako entalo buli lwe bagyambala.
    Ntwatwa bano abasabye okukomya okubeera abatitiizi n’abagamba nti tebasaanidde kwerabira nti be bali mu buyinza obufuga eggwanga lino n’agamba nti tebalina kutya kwambala kkala za kibiina wabula babeere bulindaala okukuba abo ababakuba olw’okwambala emojoozi gya kyenvu.
    Kino omubaka wa Pulezidenti atuula e Mukono, RDC Hajjati Fatuma Ndisaba agaanye okukikkiriza n’agamba nti si kituufu. Ndisaba ategeezezza nti olw’okuba eggwanga liri mu kiseera kya bibiina bingi, buli muntu alina okuba ow’eddembe okuwagira ky’ayagala era ng’asobola okwambala kkala y’ekibiina kye ewatali kutya nga n’oyo amusosonkereza aba akoze musango era avunaanibwa. ‪@kyaggwetv1‬
    Like, Share, Comment and Subscribe to Kyaggwe TV for daily updates. • Aba NUP bwe babakuba o...

КОМЕНТАРІ • 2

  • @MukisaTrix
    @MukisaTrix 22 дні тому +1

    🏖️🏖️🏖️🏖️⛱️⛱️⛱️🏖️🏖️⛱️💪💪💪

  • @MukisaTrix
    @MukisaTrix 22 дні тому

    Kyilabe