Okuddaabiriza office ya RDC e Mukono kuwemmense ensimbi ezisoba mu bukadde 460

Поділитися
Вставка
  • Опубліковано 22 тра 2024
  • Emu ku woofiisi eziri mu kuddaabirizibwa mu kiseera kino ye ya RDC w’e Mukono ng’eno baagala etuukane n’omutindo gw’ekitiibwa kya woofiisi ya Pulezidenti.
    Fredrick Mugisha, amyuka omuwandiisi ow’enkalakkalira mu woofiisi ya pulezidenti (Principal Assistant Secretary) ng’ali ne ba kkontulakita ssaako RDC w’e Mukono Hajjati Fatuma Ndisaba n’abamyukabe okuli Mike Ssegawa ne Rhodha Titwe Kagaga ssaako DISO nga bano bonna balina woofiisi ku kizimbe kino, baalambudde omulimu we gutuuse.
    Mugisha yagambye nti wadde ekigenderwa kyali kya kuzimba woofiisi mpya, ku bunene bwa ttaka lya kitundu kya yiika disitulikiti ly’ekyalemeddwa okubawa, baasalawo okuddaabiriza ekizimbe kino olw’embeera embi gye kyalimu.
    Ono yategeezezza nti disitulikiti okuli Nebbi, Luuka, Nakapiripirit zzo zaawaayo ettaka era baamala okuzizimbira sso nga mu disitulikiti okuli Butalejja ne Buyende bateekateeka okutandika okuzimba ng’ate yo e Mityana baatandika dda. ‪@kyaggwetv1‬
    Like, Share, Comment and Subscribe to Kyaggwe TV for daily updates. • Okuddaabiriza office y...

КОМЕНТАРІ •