Habib Buwembo alumbye kkooti lwa ssente za kakalu

Поділитися
Вставка
  • Опубліковано 30 лис 2024
  • Munnabyabufuzi Habib Buwembo kata olwaleero alumale ku kitebe kya kkooti enkulu mu Kampala nga yekalakaasa okuwakanya abakulu mu kkooti eno, okugaana okumuddiza ensimbi zeyawaayo okuweebwa akakalu ka kkooti.Buwembo ono yakwatiibwa mu mwaka gwa 2022 ku misango gy'okuwebuula ekitiibwa kya sipiika wa palamenti Anita Among bwe yamuyita omubbi w'amabaati g'e Karamoja.Ono okuweebwa akakaulu, yasabibwa obukadde busatu wabula omusango omulamuzi n'amala n'agugoba olw'obutabaamu nsa.
    Buwembo agamba nti aludde nga yewuuba ku kkooti eno addizibwe akasente ke wabula nga abakulu bamuzza mu jjo, jjuuzi.#NTVNews #Akawungeezi
    For more news visit www.ntv.co.ug
    Follow us on Twitter / ntvuganda
    Like our Facebook page / ntvuganda

КОМЕНТАРІ • 21