Bp. Kagodo agobye ‘prom parties’ mu masomero g’ekkanisa

Поділитися
Вставка
  • Опубліковано 6 тра 2024
  • Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo aweze mbagirawo obubaga amasomero bwe gategekera abayizi abali mu bibiina eby’akamalirizo okuli S.4 ne S.6 obumanyiddwa ennyo nga ‘Prom party’.
    Ng’asinziira mu lukiiko n’abakulu b’amasomero g’ekkanisa mu bulabirizi bwe, Bp. Kagodo yagambye nti amaze ekiseera nga yeetegereza ebikolebwa mu bubaga buno n’ebigendererwa byabyo n’alemererwa okuzuula amakulu gaabwo n’agamba nti busaanidde buyimirire obutaddamu kubeerayo mu masomero g’ekkanisa.
    Okuliiko lw’omulabirizi n’abakulu b’amasomero lwatudde ku kitebe ky’obulabirizi e Mukono mu Bp. Ssebaggala Synod Hall ku Lwokuna.
    “Okumala emyaka ena eri abayizi ba S.4 oba emyaka mukaaga eri aba S.6, amasomero gaba gabatangira okwetaba mu nsonga z’omukwano wakati w’abawala n’abalenzi, eky’ennaku, ate ku kabaga kano akamanyiddwa nga ‘prom party’, ndaba abayizi nga bali babiri babiri omuwala n’omulenzi. Kati okwo si kwoza n’oyanika mu ttaka?” Omulabirizi bwe yeebuuzizza.
    Yagambye nti eky’ennaku, abayizi ku lunaku lwe lumu bakozesa ebiragalalagala omuli okunywa enjaga n’omwenge, n’abamu baba bagenderera kuggwamu nsonyi, era mbu ekivaamu kwenyigira mu bikolwa bya bwenzi wakati w’abayizi abalenzi n’abawala. ‪@kyaggwetv1‬
    • Bp. Kagodo agobye ‘pro...

КОМЕНТАРІ • 2

  • @marynamukasa7464
    @marynamukasa7464 Місяць тому

    Abaana baffe ekituffu prom zibononye kubanga no mwana abadde abadde talina mize emibi ayigira awo

  • @marynamukasa7464
    @marynamukasa7464 Місяць тому

    The truth is prom zaribadde nungi naye bayitiriza abaana bononose ate waliwo abaana abava mumaka amavu nga bambi nga talina